Zabbuli 111
 1 Mutendereze Mukama! 
Nneebazanga Mukama n’omutima gwange gwonna, 
mu lukiiko lw’abalongoofu, era ne mu lukuŋŋaana. 
 2  Mukama by’akola bikulu; 
bifumiitirizibwako abo bonna ababisanyukira. 
 3 Emirimu gye mikulu nnyo era gya kitiibwa, 
n’obutuukirivu bwe tebuggwaawo emirembe gyonna. 
 4 Ayamba abantu okujjukira ebyamagero bye, 
Mukama wa kisa era ajjudde okusaasira. 
 5 Agabira abamutya emmere; 
era ajjukira endagaano ye buli kiseera. 
 6 Abantu be abalaze ng’ebikolwa bye bwe biri eby’amaanyi; 
n’abagabira ensi eyali ey’abannaggwanga. 
 7 By’akola byonna bya bwesigwa era bya bwenkanya; 
n’amateeka ge gonna ga bwesigwa, 
 8 manywevu emirembe gyonna; 
era yagassaawo nga ga bwesigwa era nga ga mazima. 
 9 Yanunula abantu be; 
n’alagira endagaano ye ebeerewo emirembe gyonna. 
Erinnya lye ttukuvu era lya ntiisa! 
 10 Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera 
era abo abagondera ebigambo ebyo bajjudde obutegeevu. 
Mukama atenderezebwenga emirembe gyonna.