20
Seba Ajeemera Dawudi
Waaliwo omusajja omujeemu erinnya lye Seba, mutabani wa Bikuli, Omubenyamini. Yafuuwa ekkondeere n’ayogerera n’eddoboozi ery’omwanguka nti,
“Tetulina mugabo mu Dawudi,
so tetulina busika mu mutabani wa Yese!
Buli muntu adde mu weema ye, ggwe Isirayiri!”
Awo abantu ba Isirayiri bonna ne balekulira Dawudi ne bagoberera Seba mutabani wa Bikuli. Naye abantu ba Yuda bo ne basigala ne kabaka waabwe, okuva ku Yoludaani okutuuka e Yerusaalemi. Dawudi bwe yadda mu lubiri lwe e Yerusaalemi, n’addira abakyala be ekkumi be yali alese okulabirira olubiri n’abasibira mu kkomera. N’abagabirira mu byokulya kwabwe, naye n’atebaka nabo. Ne baggalirwa eyo okutuusa lwe baafa, nga bali nga bannamwandu.
Awo kabaka n’agamba Amasa nti, “Nkuŋŋaanyiza abasajja ba Yuda mu nnaku ssatu, naawe obeerewo.” Naye Amasa bwe yagenda okukola ky’alagiddwa, n’atwala ekiseera kiwanvu okusinga kabaka kye yali amuwadde. Dawudi n’agamba Abisaayi nti, “Seba mutabani wa Bikuli alitukola akabi okusinga Abusaalomu bwe yakola. Noolwekyo twala abasajja ba mukama wo omugoberere aleme okuddukira mu bibuga ebiriko bbugwe, n’atusimatuka.” Awo abasajja ba Yowaabu, n’Abakeresi, n’Abaperesi, n’abaserikale abazira bonna, ne bava mu Yerusaalemi ne bagenda okunoonya Seba mutabani wa Bikuli nga baduumirwa Abisaayi.
Bwe baatuuka ku lwazi olunene mu Gibyoni, Amasa n’ajja okubasisinkana. Yowaabu yali yeesibye ebyambalo bye eby’olutalo, ne mu kiwato nga yeesibye olukoba olwaliko ekitala ekyali mu kiraato kyakyo. Bwe yasituka, ne kisowoka mu kiraato kyakyo ne kigwa wansi.
Yowaabu n’alamusa Amasa ng’ayogera nti, “Mirembe, muganda wange?” Yowaabu n’akwata Amasa ekirevu n’omukono gwe ogwa ddyo, n’aba nga agenda okumunywegera. 10 Naye Amasa n’atassaayo mwoyo okwekuuma ekitala ekyali mu mukono gwa Yowaabu; Yowaabu n’akimufumita mu lubuto, n’ayiwa ebyenda bye wansi. N’atamufumita lwakubiri, Amasa bw’atyo n’afa. Awo Yowaabu ne muganda we Abisaayi ne beeyongera okugoberera Seba mutabani wa Bikuli.
11 Omu ku basajja ba Yowaabu n’ayimirira okumpi n’omulambo gwa Amasa n’ayogera nti, “Buli ayagala Yowaabu, era buli ali ku luuyi lwa Dawudi, agoberere Yowaabu.” 12 Omulambo gwa Amasa ne gubeera mu musaayi gwe nga gukulukunyirizibwa omwo wakati mu luguudo. Ne wabaawo omusajja eyalaba nga buli eyatuukanga awali omulambo gwa Amasa ng’ayimirira; omusajja oyo n’agusitula n’aguggya mu luguudo n’agutwala ebbali mu nsiko, n’agusuulako olugoye. 13 Awo omulambo gwa Amasa bwe gwaggyibwa mu kkubo abantu bonna ne beeyongerayo ne Yowaabu okugoberera Seba mutabani wa Bikuli.
14 Seba n’ayita mu bika byonna ebya Isirayiri ng’abakunga okutuuka mu Aberi eky’e Besumaaka, n’ayita ne mu kitundu kyonna eky’Ababeri ne bakuŋŋaanira gy’ali ne bamugoberera. 15 Eggye lyonna eryali ne Yowaabu, ne bazingiza Seba mu Aberi eky’e Besumaaka. Ne bakola ebifunvu okutuuka ku kibuga n’okwolekera ekigo. Bwe baali nga bakyamenya bbugwe, 16 ne wavaayo omukazi ow’amagezi mu kibuga, n’akoowoola ng’ayogera nti, “Muwulirize. Muwulirize! Mugambe Yowaabu ajje wano, mbeeko kye mmugamba.” 17 Yowaabu n’agenda okumpi ne we yali, omukazi n’amubuuza nti, “Ggwe Yowaabu?”
N’addamu nti, “Nze nzuuyo.”
N’amugamba nti, “Wuliriza omuweereza wo by’anaayogera.”
N’addamu nti, “Mpuliriza.”
18 N’ayongera n’ayogera nti, “Edda baayogeranga nti, ‘Bw’oba ng’olina ky’obuuza genda mu Aberi,’ era ekyo kye ky’amalanga ensonga. 19 Ffe bantu abaagazi b’emirembe era abeesigwa mu Isirayiri. Mwagala okuzikiriza ekibuga, nnyina w’abaana mu Isirayiri. Lwaki oyagala okumira obusika bwa Mukama?”
20 Yowaabu n’addamu nti, “Kikafuuwe, nze okumira ekibuga kino newaakubadde okukizikiriza. 21 Si bwe kiri. Waliwo omusajja erinnya lye ye Seba, mutabani wa Bikuli, ow’omu nsi ey’ensozi eya Efulayimu, agolodde omukono gwe eri kabaka Dawudi. Bwe munaamuwaayo oyo omu yekka, nange nzija kulekayo okubalumba.”
22 Omukazi n’agamba Yowaabu nti, “Omutwe gwe gunaakasukibwa gy’oli ku bbugwe.” Awo omukazi n’agenda n’ekiteeso kye eri abantu bonna, ne basalako omutwe gwa Seba mutabani wa Bikuli, ne bagusuulira Yowaabu. Yowaabu n’afuuwa ekkondeere, abasajja be ne bava ku kibuga ne basaasaana, bonna ne baddayo ewaabwe. Yowaabu ye n’addayo eri kabaka mu Yerusaalemi.
23 Yowaabu yali muduumizi wa ggye lya Isirayiri,
ne Benaya mutabani wa Yekoyaada nga y’akulira Abakeresi, n’Abaperesi.
24 Adolaamu ye yakuliranga abapakasi,
Yekosafaati mutabani wa Akirudi ye yali omujjukiza.
25 Seva ye yali omuwandiisi,
Zadooki ne Abiyasaali nga be bakabona,
26 ne Ira Omuyayiri nga ye kabona wa Dawudi.