23
Ebigambo ebya Dawudi eby’Enkomerero
Bino bye bigambo ebya Dawudi, mutabani wa Yese, eby’enkomerero:
ebigambo eby’omusajja eyagulumizibwa,
Ali Waggulu ennyo,
Katonda wa Yakobo gwe yafukako amafuta,
omuyimbi wa Zabbuli za Isirayiri:
 
“Omwoyo wa Mukama yayogerera mu nze,
ekigambo kye kyali mu kamwa kange.
Katonda wa Isirayiri yayogera,
olwazi lwa Isirayiri yaŋŋamba nti,
‘Omuntu bw’afuga n’obutuukirivu,
n’afugira mu kutya Katonda,
ali ng’ekitangaala eky’oku makya,
enjuba ng’evaayo ku ggulu nga tekuli bire,
obudde nga butangaala oluvannyuma lw’enkuba okukya
ereetera omuddo okuvaayo mu ttaka.’
Ennyumba yange tetuukiridde mu maaso ga Katonda?
Teyalagaana nange endagaano ey’enkalakkalira,
n’agiteekateeka era n’aginyweza mu buli nsonga?
Ekimulobera okumpa omukisa,
n’okuddamu buli kye mmusaba, kiki?
Naye abatatya Katonda baliba nga amaggwa agasuulibwa wa bbali,
kizibu okugakwata n’engalo.
Buli agakwatako kimugwanira okukozesa ekyuma
oba olunyago lw’effumu,
era gookerwa awo omuliro we bagakuŋŋaanyirizza.”
Abasajja ba Dawudi ab’Amaanyi
Gano ge mannya ag’abasajja ba Dawudi abalwanyi ab’amaanyi be yalina: Yosebu-Basusebesi Omutakemoni eyali omukulu wa bazira abasatu ab’oku ntikko; yatta abasajja lunaana mu lulumbagana lumu.
Eyamuddiriranga ye yali Eriyazaali mutabani wa Dodayi Omwakowa. Yali ne Dawudi bwe baasoomooza Abafirisuuti abaali bakuŋŋaanye okulwana. Abasajja ba Isirayiri baali bazze ennyuma, 10 naye ye nayimirira ku bubwe n’atta Abafirisuuti, n’omukono gwe ne gukoowa, ne gusanyalalira ku kitala. Mukama n’abawa obuwanguzi obw’amaanyi olunaku olwo, abaserikale ne baddayo eri Eriyazaali okunyaga ebintu byabo abattibwa.
11 Owookusatu ye yali Samma mutabani wa Agee Omukalali. Abafirisuuti bwe baakuŋŋaanira mu musiri ogw’ebijanjaalo, abasajja ba Isirayiri ne babadduka, 12 Samma yayimirira wakati mu musiri, n’agulwanirira, era n’atta Abafirisuuti. Mukama n’awa Abayisirayiri obuwanguzi obw’amaanyi.
13 Mu kiseera eky’okukungula, basatu ku bakungu amakumi asatu ne bagenda eri Dawudi mu mpuku eya Adulamu, ekibinja ky’Abafirisuuti nga basiisidde mu kiwonvu Lefayimu. 14 Mu kiseera ekyo Dawudi yali mu kigo, n’olusiisira lw’Abafirisuuti nga luli mu Besirekemu. 15 Dawudi n’alumwa ennyonta, n’ayogera nti, “Waliwo omuntu ayinza okunsenera amazzi okuva mu luzzi oluliraanye wankaaki wa Besirekemu?” 16 Awo abasajja be abazira abasatu ne bawaguza mu nkambi ey’Abafirisuuti, ne basena amazzi okuva mu luzzi lwa Besirekemu olwali luliraanye wankaaki, ne bagatwalira Dawudi. 17 Naye mu kifo eky’okuganywa n’agayiwayo eri Mukama. N’ayogera nti, “Kikafuuwe, Ayi Mukama Katonda, nze okukola ekyo. Nnyinza ntya okunywa omusaayi ogw’abasajja abawaddeyo obulamu bwabwe?” Bw’atyo n’ataganywa.
Ebyo bye bimu ku bintu abasajja abo abasatu abazira bye baakola.
18 Waaliwo ne Abisaayi muganda wa Yowaabu, mutabani wa Zeruyiya, naye nga mukulu w’abasajja amakumi asatu. Yayimusiza effumu lye eri abasajja ebikumi bisatu n’abatta, ne yeekolera erinnya okwenkanankana abasatu. 19 N’aba wa kitiibwa nnyo mu bali amakumi asatu newaakubadde nga teyatuuka ku ssa ery’abali abasatu.
20 Ne Benaya mutabani wa Yekoyaada ow’e Kabuzeeri yali musajja mulwanyi nnyo eyakola ebyobuzira ebikulu. Yatta babiri ku basajja abazira aba Mowaabu, ate n’aserengeta ne mu bunnya n’atta empologoma mu kiseera eky’obutiti. 21 N’atta Omumisiri omunene ennyo. Newaakubadde ng’Omumisiri yalina effumu mu mukono gwe, Benaya ye ng’alina muggo; yamunyagako effumu lye, n’alimuttisa. 22 Ebyo bye byobuzira Benaya mutabani wa Yekoyaada bye yakola, era naye n’ayatiikirira ng’abasajja bali abasatu abazira. 23 N’aweebwa ekitiibwa mu makumi asatu, newaakubadde nga teyatuuka ku ssa ery’abasatu. Dawudi n’amufuula omukulu w’abambowa.
 
24 Mu makumi asatu mwe mwali:
 
Asakeri muganda wa Yowaabu,
Erukanani mutabani wa Dodo ow’e Besirekemu,
25 Samma Omukalodi,
Erika Omukalodi,
26 Kerezi Omupaluti,
Ira mutabani wa Ikkesi Omutekowa,
27 Abiyezeeri Omwanasosi,
Mebunnayi Omukusasi,
28 Zalumoni Omwakowa,
Makalayi Omunetofa,
29 Kerebu mutabani wa Baana Omunetofa,
Ittayi mutabani wa Libayi ow’e Gibea eky’e Benyamini,
30 Benaya Omupirasoni,
Kiddayi ow’oku bugga obw’e Gaasi,
31 Abi-Aluboni Omwalubasi,
ne Azumavesi Omubalukumi,
32 ne Eriyaba Omusaaluboni,
batabani ba Yaseni, Yonasaani,
33 ne Samma Omukalali,
Akiyamu mutabani wa Salali Omwalali,
34 Erifereti mutabani wa Akasubayi Omumaakasi,
Eriyaamu mutabani wa Akisoferi Omugiro,
35 Kezulo Omukalumeeri,
Paalayi Omwalubi,
36 Igali mutabani wa Nasani ow’e Zoba,
Bani Omugaadi,
37 Zereki Omwamoni,
Nakalayi Omubeerosi, eyasitulanga ebyokulwanyisa bya Yowaabu mutabani wa Zeruyiya,
38 Ira Omuyisuli,
Galebu Omuyisuli,
39 ne Uliya Omukiiti.
 
Bonna awamu baali amakumi asatu mu musanvu.