3
Waliwo amawanga Mukama gaatazikiriza asobole okuyigiririzaako Abayisirayiri bonna abataamanya ntalo zonna ez’omu Kanani; Kino kiyaambe Abayisirayiri ab’omulembe omuggya abatalwanangako okukuguka mu by’entalo. Ge gano: Abakungu abataano ab’Abafirisuuti, Abakanani bonna, Abasidoni, n’Abakiivi abaabeeranga ku lusozi Lebanooni, okuva ku lusozi Baalukerumoni okutuuka awayingirirwa mu Kamasi. Era gaalekebwawo okugezesa Abayisirayiri obanga baligondera amateeka ga Mukama ge yalagira bajjajjaabwe ng’ayita mu Musa.
Abayisirayiri ne babeeranga wamu n’Abakanani, Abakiiti, Abamoli, Abakiivi n’aba Yebusi. Ne bawasanga abawala ab’omu mawanga ago era ne bafumbizanga bawala baabwe eri abalenzi b’omu mawanga ago ne basinzanga ne bakatonda baabwe.
Okufuga kwa Osunieri
Abayisirayiri ne bakola ebibi mu maaso ga Mukama, ne beerabira Mukama Katonda waabwe ne basinzanga Babaali ne Baasera. Noolwekyo Mukama n’asunguwalira nnyo Abayisirayiri, kyeyava abawaayo okuwangulwa n’okufugibwa kabaka Kusanurisasaimu ow’e Mesopotamiya okumala emyaka munaana. Naye Abayisirayiri bwe baalaajanira Mukama, kyeyava abawa omulwanyi omuzira okubanunula erinnya lye Osunieri azaalibwa Kenezi muto wa Kalebu. 10 Osunieri n’ajjula Omwoyo wa Mukama n’akulembera Abayisirayiri, n’alumba Kusanurisaseyimu kabaka w’e Mesopotamiya era n’amuwangula kubanga Mukama yamuwaayo mu mikono gya Osunieri. 11 Awo ne wayitawo emyaka ana ng’Abayisirayiri bali mu mirembe okutuusa ddala Osunieri mutabani wa Kenazi lwe yafa.
Okufuga kwa Ekudi
12 Ate era Abayisirayiri ne bakola ebibi mu maaso ga Mukama; kyeyava awa Eguloni kabaka wa Mowaabu amaanyi okubawangula olw’ebibi byabwe. 13 Ne yegatta n’Abamoni n’Abamaleki* Abamoni baali bazzukulu ba Lutti (Lub 19:38), ate Abamaleki baali bazzukulu ba Esawu (Lub 36:12, 16). Baaliraananga Abayisirayiri ate nga be balabe baabwe abasingirayo ddala okuba abakambwe. ne balumba Abayisirayiri era ne babawambako ekibuga kyabwe eky’enkindu. 14 Abayisirayiri ne bafugibwa Egulooni kabaka wa Mowaabu emyaka kkumi na munaana.
15 Naye Abayisirayiri bwe baalaajanira Mukama, kyeyava abawa omulwanyi omuzira okubanunula ayitibwa Ekudi ow’enkonokono mutabani wa Gera ow’omu kika kya Benyamini; era oyo Abayisirayiri gwe baatuma okutwala ekirabo kyabwe eri Egulooni kabaka wa Mowaabu. 16 Ekudi ne yeewesezza ekitala ekirina obwogi erudda n’erudda nga kiweza sentimita ana mu ttaano obuwanvu. N’akyesiba ku kisambi kye ekya ddyo munda mu ngoye ze. 17 N’atwalira Egulooni kabaka wa Mowaabu ekirabo. Egulooni yali musajja munene nnyo. 18 Awo bwe yamala okuwaayo ekirabo, n’agobawo abajja bakyetisse. 19 Ekudi n’akoma awaali amayinja amoole kumpi ne Girugaali n’addayo eri Egulooni n’amugamba nti, “Nnina obubaka obw’ekyama gy’oli.” Kabaka n’agobawo bonna be yali nabo era ne bamuviira.
20 Awo kabaka bwe yali ng’atudde bw’omu mu nnyumba ye, mu kisenge ekya waggulu ekiweweevu, Ekudi n’amusemberera era n’amugamba nti, “Nnina obubaka obuva eri Katonda gy’oli.” Kabaka n’asituka mu ntebe ye. 21 Ekudi n’asowolayo ekitala kye n’omukono ogwa kkono ng’akiggya ku kisambi kye ekya ddyo n’akisogga kabaka mu lubuto; 22 ekitala kyonna n’ekiti kyakyo ne kimubuliramu, amasavu ne gakibuutikira era n’atayinza na kukisowolamu. Ebyenda bya kabaka ne biyiika. 23 Ekudi n’asibawo oluggi oluyingira mu kisenge ekya waggulu, n’afulumira mu mulyango ogw’emanju.
24 Bwe yali nga yakafuluma abaweereza ba kabaka ne bajja. Bwe baalaba nga enzigi nsibe ne balowooza nti, “Kabaka ateekwa okuba ng’agenze manju.” 25 Bwe baakoowa okulindirira ne baddira ekisumuluzo ne basumululawo, baagenda okulaba ng’omulambo gwa mukama waabwe gugudde bugazi mu kisenge.
26 Mu kiseera kye baamala nga balindirira kabaka okuggulawo Ekudi mwe yaddukira n’ayita ku mayinja amoole n’atuuka e Seyiri. 27 Bwe yatuuka mu kitundu eky’ensozi ekya Efulayimu n’akiyitamu nga bw’afuuwa ekkondeere, Abayisirayiri ne bamwegattako ye nga abakulembeddemu.
28 N’abagamba nti, “Mungoberere kubanga Mukama abawadde obuwanguzi ku balabe bammwe Abamowaabu.” Ne bamugoberera ne bawamba ekifo awasomokerwa ekyali kyolekedde aba Mowaabu ku mugga Yoludaani; Abayisirayiri ne bataganya muntu yenna kusomoka. 29 Ne batta ku basajja abalwanyi abazira aba Mowaabu mutwalo mulamba; teri n’omu ku bo yasimattuka. 30 Bwe batyo Abayisirayiri ne bajeemulula Abamowaabu ku lunaku olwo. Okuva ku olwo ensi n’ebaamu emirembe okumala emyaka kinaana.
Samugali
31 Omukulembeze eyaddira Ekudi mu bigere ye Samugali mutabani wa Anasi era naye yanunula Abayisirayiri. Ye wuuyo eyatta abasajja Abafirisuuti lukaaga nga yeeyambisa omuwunda gwe bagobesa ente nga zirima.

*3:13 Abamoni baali bazzukulu ba Lutti (Lub 19:38), ate Abamaleki baali bazzukulu ba Esawu (Lub 36:12, 16). Baaliraananga Abayisirayiri ate nga be balabe baabwe abasingirayo ddala okuba abakambwe.