5
Oluyimba lwa Debola
Ku olwo Debola ne Baraki mutabani wa Abinoamu ne bayimba bwe bati:
“Mutendereze Mukama
kubanga mu Isirayiri abakulembeze baatuukiriza omulimu gwabwe
n’abantu ne beewaayo nga baagala.
 
“Muwulirize mmwe bakabaka, musseeyo omwoyo mmwe abalangira;
nze kennyini, nze nnaayimbira Mukama;
nze nnaayimbira Mukama Katonda wa Isirayiri.
 
Mukama, bwe wava e Seyiri,
bwe wava mu kitundu kya Edomu okutabaala,
ensi n’ekankana, enkuba n’eyiika okuva mu ggulu.
Weewaawo, ebire ne bifukumuka amazzi.
Ensozi ne zikankana awali Mukama, Oyo owa Sinaayi,
ne lukankana mu maaso Mukama Katonda w’Abayisirayiri.
 
“Ku mulembe gwa Samugali, mutabani wa Anasi,
ne ku mulembe gwa Yayeeri abatambuze tebaayitanga, mu nguudo nnene,
baatambuliranga mu mpenda.
Abakulembeze mu Isirayiri baggwaawo
okutuusa nze Debola lwe nayimuka,
nga nnyina wa bonna mu Isirayiri.
Bwe beefunira abakulembeze* abakulembeze, kyokka era Abayisirayiri baali bavudde ku Katonda omulamu nga bagoberera bakatonda abalala abalala,
entalo ne ziryoka zibalukawo mu Isirayiri.
Ku basajja Abayisirayiri emitwalo ena
kwaliko n’omu eyalina effumu oba engabo?
Omutima gwange guli eri abakulembeze b’Abayisirayiri,
n’eri abantu abeewaayo nga baagala.
Mutendereze Mukama.
 
10 “Mukyogereko mmwe,
abeebagala ku ndogoyi enjeru,
mmwe abatuula ku biwempe ebirungi ennyo,
nammwe abatambulira mu kkubo. 11 Wulira oluyimba lw’abantu ku luzzi,
nga batendereza obuwanguzi era n’ebikolwa bya Mukama eby’obutuukirivu,
ebikolwa bye eby’obutuukirivu nga akulembera Abayisirayiri.
 
“Awo abantu ba Mukama ne baserengeta,
ne bagenda ku miryango gy’ebibuga byabwe.
12 Zuukuka, zuukuka Debola
zuukuka, zuukuka, okulembere oluyimba;
golokoka, Baraki okulembere
abawambe bo nga basibiddwa, ggwe mutabani wa Abinoamu.
 
13 “Awo abakungu abaasigalawo
ne baserengeta,
abantu ba Mukama,
ne baserengeta okulwanyisa ow’amaanyi.
14 Awo abaava mu kitundu kya Efulayimu ne baserengeta mu kiwonvu,
nga bakugoberera ggwe, Benyamini, n’ab’ekika kyo.
Mu Makiri ne wavaayo abakulembeze, ne baserengeta,
ne mu kitundu kya Zebbulooni ne wavaayo abaduumizi.
15 Abalangira ba Isakaali baali wamu ne Debola;
era Isakaali yali wamu ne Baraki.
Ne bafubutuka okumugoberera mu kiwonvu.
Olw’enjawukana ezaali mu kika kya Lewubeeni,
waaliwo okusooka okufumiitiriza ennyo mu mitima gyabwe.
16 Kiki ekyakusigaza mu bisibo byo eby’endiga,
okuwuliriza endere zebafuuyira endiga?
Olw’enjawukana ezaali mu kika kya Lewubeeni,
waaliwo okusooka okufumiitiriza ennyo mu mitima gyabwe.
17 Ab’ekika kya Gireyaadi baasigala mitala wa Yoludaani.
N’ab’ekika kya Ddaani ekyabasigaza mu byombo kiki?
Ab’ekika kya Aseri; baasigala ku lubalama lw’ennyanja,
ne babeera awali emyalo gyabwe.
18 Ab’ekika kya Zebbulooni baawaayo obulamu bwabwe,
era n’ab’ekika kya Nafutaali mu ddwaniro.
 
19 “Ku mugga gw’e Megiddo mu Taanaki,
bakabaka bajja ne balwana,
bakabaka b’e Kanani baalwana.
Naye tebaanyaga bintu.
20 Emunyeenye zaalwana nga zisinziira mu ggulu,
zaalwanyisa Sisera nga bwe zetoloola mu bbanga.
21 Omugga Kisoni gwabasanyizaawo ddala,
omugga ogwo ogw’edda omugga Kisoni.
Ggwe emmeeme yange, kkumba n’amaanyi.
22 Awo embalaasi ne zijja nga zirigita
era nga bwe zisambirira ettaka, ensolo zaabwe ezo ez’amaanyi.
23 Malayika wa Mukama n’agamba nti, ‘Mukolimire Merozi Merozi kyali kibuga mu Nafutaali; abantu baamu tebeetabanga mu kulwana ntalo newaakubadde okuwamba abalabe abawanguddwa, abalabe abo ne bwe baabanga badduka.
Mukolimire nnyo ababeera e Merozi;
kubanga tebeetaba mu lutalo lwa Mukama.
Tebaalwetabaamu nga Mukama Katonda alwanyisa ab’amaanyi.’
 
 
24 “Nga wa mukisa Yayeeri okusinga abakazi bonna!
Nga wa mukisa Yayeeri mukazi w’Omukeeni Keberi,
okusinga abakazi bonna ababeera mu weema!
25 Bwe yasaba amazzi, yamuwa mata,
era n’amuleetera n’omuzigo mu bbawulo ey’ekikungu.
26 Yakwata enkondo ya weema mu mukono gwe ogwa kkono,
n’ennyondo mu gwa ddyo,
n’akomerera Sisera enkondo
mu kyenyi n’eyita namu.
27 Amaanyi gaamuggwa n’agwa;
yagwa ku bigere bya Yayeeri
n’alambaala
we yagwa we yafiira.
 
28 “Nnyina wa Sisera yalingiriza mu ddirisa;
yayisa amaaso mu ddirisa, n’aleekaanira waggulu nti
‘Kiki ekirwisizza eggaali lye okujja?
Okuguluba kw’eggaali lye nga sikuwulira?’
29 Abazaana be abagezi baba tebanamuddamu
ne yeddamu yekka.
30 ‘Tebazudde omunyago era tebali mu kugugabana,
omuwala omu oba babiri buli musajja?
Sisera tufunye omunyago ogw’engoye enduke ez’amabala?
Eminagiro ebiri emiruke, egy’amabala tegiibe gyange?’
 
31 “Ayi Mukama Katonda abalabe bo bazikirirenga bwe batyo nga Sisera.
Naye abo bonna abakwagala bamasemasenga ng’enjuba
ey’akavaayo mu maanyi gaayo.”
Awo ne wayitawo emyaka ana nga Abayisirayiri bali mu mirembe.

*5:8 abakulembeze, kyokka era Abayisirayiri baali bavudde ku Katonda omulamu nga bagoberera bakatonda abalala

5:23 Merozi kyali kibuga mu Nafutaali; abantu baamu tebeetabanga mu kulwana ntalo newaakubadde okuwamba abalabe abawanguddwa, abalabe abo ne bwe baabanga badduka