34
Awo Eriku ne yeeyongera okwogera nti,
“Muwulire ebigambo byange, mmwe abasajja ab’amagezi;
mumpulirize mmwe abayivu.
Kubanga okutu kugezesa ebigambo
ng’olulimi bwe lugezesa emmere.
Leka twesalirewo ekituufu;
muleke tulondewo ekisaanidde.
 
“Yobu agamba nti, ‘Siriiko musango,
naye Katonda agaanye okusala omusango gwange mu mazima.
Wadde nga ndi mutuufu,
ntwalibwa okuba omulimba,
wadde nga siriiko musango,
akasaale ke kanteseeko ekiwundu ekitawonyezeka.’
Musajja ki ali nga Yobu,
anywa okunyoomebwa ng’anywa amazzi?
Atambula n’abakozi b’ebibi,
mukwano gw’abo abakola ebitali bya butuukirivu.
Kubanga agambye nti, ‘Omuntu talina kyaganyulwa
bw’agezaako okusanyusa Katonda.’
10 Noolwekyo mumpulirize mmwe abasajja abalina okutegeera.
Kikafuuwe Katonda okukola ebibi,
wadde Ayinzabyonna okukola ebikyamu.
11 Asasula omuntu olw’ekyo ky’aba akoze;
n’amutuusaako ebyo ebimusaanidde olw’empisa ze.
12 Weewaawo amazima gali nti, Katonda tasobya.
Ayinzabyonna tasaliriza musango.
13 Obuyinza yabuggya eri ani okukulembera ensi?
Ani eyamuwa olukusa okufuga ensi yonna?
14 Singa asalawo n’atwala omwoyo gw’omuntu
awamu n’omukka gwe,
15 abantu bonna bandizikiriridde wamu,
era omuntu yandizzeeyo mu nfuufu.
 
16 “Bw’oba olina okutegeera, wuliriza kino;
wuliriza kye ŋŋamba.
17 Oyo atayagala bwenkanya asobola okufuga?
Onoosalira abatuukirivu n’oyo ow’amaanyi omusango?
18 Oyo si ye agamba bakabaka nti, ‘Tolina mugaso,’
n’abakungu nti, ‘Oli mukozi wa bibi,’
19 atattira balangira ku liiso
era nga tafa ku bagagga kusinga bw’afa ku baavu,
kubanga egyo gye mirimu gy’emikono gye?
20 Mu kaseera buseera baba bafiiridde wakati mu ttumbi.
Abantu banyeenyezebwa ne baggyibwawo.
Abo ab’amaanyi batwalibwa n’omukono ogutali gw’abantu.
 
21 “Amaaso ge gatunuulira amakubo g’abantu;
atunuulira buli kigere kye batambula.
22 Teri kifo kikwafu wadde ekisiikirize eky’amaanyi,
ababi gye bayinza okwekweka.
23 Katonda teyeetaaga kwongera kwekebejja bantu
okulabika mu maaso ge okusalirwa omusango.
24 Awatali kwebuuza ku muntu yenna, amenyaamenya ab’amaanyi
n’ateekawo abalala mu kifo kyabwe.
25 Olw’okubanga amanyi ebikolwa byabwe,
abamalamu amaanyi ekiro ne babetentebwa.
26 Ababonereza olw’ebikolwa byabwe ebibi
abantu bonna nga balaba,
27 kubanga baamuvaako ne balekeraawo okumugoberera
ne bataddayo kufaayo n’akatono ku makubo ge gonna.
28 Baleetera abaavu okukaaba, ne kumutuukako
era n’awulira okukaaba kw’abanyigirizibwa.
29 Naye bw’asalawo obutabaako ky’ayogera, ani ayinza okumunenya?
Bwakweka amaaso ge ani ayinza okumulaba?
Eggwanga n’omuntu abalinako obuyinza bwe bumu;
30 aziyiza omuntu atatya Katonda okufuga,
aleme okutega abantu emitego.
 
31 “Singa omuntu agamba Katonda nti,
gunsinze, sikyaddayo kwonoona,
32 kye sitegeera kinjigirize,
bwe mba nga nsobezza sikyaddayo kukikola,
33 olwo Katonda akuddemu nga bw’oyagala,
akuleke ng’ogaanye okwenenya?
Kaakano ggwe olina okusalawo, so sinze;
noolwekyo mbuulira ggwe ky’omanyi.
 
34 “Abantu abalina okutegeera mumbuulire,
abasajja abagezi abawulira muntegeeze,
35 ‘Yobu ayogeza butamanya
ebigambo bye tebiriimu kwolesebwa.’
36 Singa Yobu agezesebbwa okutuusa ku nkomerero,
olw’okwogera ng’abasajja abakozi b’ebibi!
37 Kubanga ku kibi kye ayongeddeko obujeemu,
n’akuba mu ngalo wakati mu ffe,
n’ayongera okwogera ng’awakanya Katonda.”