41
Amaanyi ga Lukwata
“Oyinza okusikayo lukwata n’eddobo,
oba okusiba olulimi lwayo n’omuguwa?
Oyinza okuyingiza omuguwa mu nnyindo zaayo,
oba okuwummula oluba lwayo n’eddobo?
Eneekwegayirira ng’ekusaba nti, ogikwatirwe ekisa?
Eneeyogera naawe mu bigambo ebigonvu?
Eneekola naawe endagaano
ogitwale ekuweereze obulamu bwayo bwonna?
Onoozannya nayo nga bw’ozannya n’akanyonyi,
oba okugisiba n’olukoba ng’agisibira bawala bo?
Abasuubuzi banaagiramuza,
oba banaagibala ng’ekyamaguzi?
Oyinza okuvuba eddiba lyayo n’olijjuza amalobo,
oba omutwe okugufumita n’amafumu agafumita ebyennyanja?
Bw’oligissaako engalo zo ekirivaamu tolikyerabira,
toliddayo kukikola!
Essuubi lyonna ery’okugiwangula ffu,
okugirabako obulabi kimalamu amaanyi.
10 Teri n’omu mukambwe nnyo asobola kugyaŋŋanga.
Kale, ani oyo asobola okuyimirira mu maaso gange?
11 Ani alina kye yali ampoze musasule?
Byonna ebiri wansi w’eggulu byange.
 
12 “Ku bikwata ku mikono n’ebigere byayo siisirike,
amaanyi gaayo n’ekikula kyayo bya ssimbo.
13 Ani ayinza okugiggyako eddiba lyayo ery’oku ngulu?
Ani ayinza okuyuza ekizibaawo kyayo eky’amaliba abiri?
14 Ani ayinza okuggula enzigi z’akamwa kaayo?
Amannyo gaayo geetooloddwa entiisa.
15 Omugongo gwe gujjudde enkalala z’engabo
ezisibiddwa okumukumu.
16 Zonna zisibaganye nga tewali mpewo weeyita.
17 Zakwatagana,
ziri ku zinnaazo era tezisobola kwawulibwa.
18 Bw’eyasimula, ebimyanso bijja,
n’amaaso gaayo gali nga enjuba ng’egwa.
19 Mu kamwa kaayo muvaamu ebiriro ebyaka.
Kavaamu ensasi ez’omuliro.
20 Mu nnyindo zaayo muvaamu omukka
ng’ogwentamu eyeesera eri ku muliro ogw’emmuli ezaaka.
21 Omukka oguva mu nnyindo zaayo
gukoleeza Amanda.
22 Mu nsingo yaayo mulimu amaanyi,
n’entiisa eri mu maaso gaayo.
23 Emiwula gy’ennyama yaayo gyegasse;
gikutte nnyo era tegisobola kwenyeenya.
24 Ekifuba kyayo kigumu ng’olwazi,
kigumu ng’olubengo.
25 Bwesituka ab’amaanyi batya.
Badduka olw’okubwatuka kwayo.
26 Ekitala bwe kigituukako tekirina kye kiyinza kumukolako,
oba ffumu, oba omuwunda wadde akasaale akasongovu.
27 Emenya ebyuma gy’obeera nti ekutulakutula bisasiro,
ebyo ebikomo ebimenyaamenya ng’emiti emivundu.
28 Akasaale tekayinza kugiddusa,
amayinja ag’envumuulo gaba nga biti gy’eri.
29 Embukuuli nayo eri ng’ebisusunku gy’eri.
Esekerera amafumu agakasukibwa.
30 Amagalagamba g’oku lubuto lwayo gali ng’engyo z’ensuwa.
Bwe yeekulula mu bitosi ebeera ng’ekyuma ekiwuula.
31 Ereetera obuziba bw’ennyanja okuba ng’entamu eyeesera.
Ennyanja n’eba ng’entamu y’omuzigo ogufumbibwa.
32 Mu mazzi mw’eyise, erekamu ekkubo ery’amayengo ameeru;
ne kireeta n’ekirowoozo nti obuziba bulina envi.
33 Tewali kigyenkana ku nsi;
ekitonde ekitatya.
34 Enyooma buli kisolo.
Ye kabaka w’abo bonna ab’amalala.”