7
Obulombolombo bw’Abayudaaya
1 Awo abafalisaayo n’abannyonnyozi b’amateeka abamu abaali bavudde e Yerusaalemi ne bakuŋŋaanira awali Yesu. 2 Ne balaba abamu ku bayigirizwa be nga balya tebanaabye mu ngalo. 3 Kubanga Abafalisaayo n’Abayudaaya bonna tebaalyanga nga tebasoose kunaaba mu ngalo n’obwegendereza ng’empisa zaabwe bwe zaali. 4 Era bwe baddanga eka nga bava mu katale, ekyo kye baasookanga okukola nga tebannaba kukwata ku kyakulya kyonna. Waliwo n’obulombolombo obulala bwe baagobereranga ng’okulongoosa ensuwa zaabwe, n’ebikopo, n’ebbinika n’essowaani, n’ebirala bingi.
5 Awo Abafalisaayo n’abannyonnyozi b’amateeka ne babuuza Yesu nti, “Lwaki abayigirizwa bo tebagoberera mpisa za bajjajjaffe ez’edda? Kubanga balya nga tebanaabye mu ngalo.”
6 Yesu n’abaddamu nti, “Bannanfuusi mmwe! Nnabbi Isaaya yaboogerako bulungi ebyobunnabbi bwe yagamba nti,
“ ‘Abantu bano banzisaamu ekitiibwa kya ku mimwa,
naye emitima gyabwe tegindiiko.
7 Okusinza kwabwe tekuliimu nsa;
kubanga bayigiriza bulombolombo bwabwe.’
8 Muleka ebiragiro ebiva eri Katonda ne mugoberera obulombolombo bw’abantu.”
9 N’abagamba nate nti, “Munyooma ekiragiro kya Katonda, ne muggumiza obulombolombo bwammwe. 10 Musa yagamba nti, ‘Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa.’ Era n’agamba nti, ‘Omuntu yenna ayogera obubi ku kitaawe oba nnyina anattibwanga.’ 11 Naye mmwe mugamba nti kituufu omuntu okulagajjalira bakadde be nga bali mu kwetaaga n’abagamba bugambi nti, ‘Mmunsonyiwe, kubanga kye nandibawadde ye Korubaani* Korubaani kitegeeza ekintu ekyawuddwako okuweebwa Katonda. Korubaani kyakozesebwanga mu mateeka ga Musa okukubiriza abaana okufaayo ku bazadde baabwe, ate n’abayigiriza b’amateeka baakozesanga ekirayiro kya Korubaani okufuga abagoberezi baabwe.’ ” 12 “Omuntu temumukkiriza kubeerako ky’akolera kitaawe oba nnyina. 13 Bwe mutyo munyooma ekigambo kya Katonda mulyoke mutuukirize obulombolombo bwammwe bwe mwaweebwa. N’ebirala bingi ebiri ng’ebyo bye mukola.”
Ebyonoona Omuntu
14 Awo Yesu n’ayita ekibiina ky’abantu n’abagamba nti, “Mmwe mwenna, mumpulirize, era mutegeere. 15 Ebintu ebiyingira mu muntu si bye byonoona empisa ze, wabula ebyo ebiva mu mutima gwe bye bizoonoona. 16 (Omuntu alina amatu agawulira awulirize.)”
17 Yesu n’aviira ekibiina n’ayingira mu nnyumba, abayigirizwa be ne bamubuuza amakulu g’ebigambo bye yayogera. 18 N’abaddamu nti, “Nammwe temutegedde? Temutegeera nti buli kintu ekiyingira mu muntu si kye kimwonoona? 19 Olw’okuba nga tekiyingira mu mutima gwe naye kiyingira mu lubuto lwe ne kiryoka kigenda mu kabuyonjo.” Mu kwogera atyo Yesu yakakasa nga buli kyakulya bwe kiri ekirongoofu.
20 Era n’ayongerako na bino nti, “Ebirowoozo by’omuntu bye bimwonoona. 21 Kubanga mu mutima gw’omuntu mwe muva ebirowoozo ebibi eby’obukaba, n’obubbi, n’obutemu, n’obwenzi, 22 n’okwegomba, n’omutima omubi, n’obukuusa, n’obumenyi bw’amateeka, n’obuggya, n’okusekeeterera, n’obusirusiru. 23 Ebibi bino byonna biva munda mu muntu ne bimwonoona.”
Okukkiriza kw’Omukazi Omusulofoyiniiki
24 Awo Yesu n’alaga mu bitundu by’e Ttuulo, n’atayagala kitegeerekeke nti ali mu bitundu ebyo, naye ne kitasoboka. 25 Omukazi eyalina muwala we ng’aliko omwoyo omubi, olwawulira nga Yesu yaakatuuka, n’ajja eri Yesu, n’agwa ku bigere bye. 26 Omukazi teyali Muyudaaya, yali Musulofoyiniiki, n’amwegayirira agobe dayimooni ku mwana we.
27 Yesu n’agamba omukazi nti, “Omwana asaana asoke akkute, kubanga tekiba kituufu okuddira emmere y’omwana okugisuulira embwa.”
28 Naye omukazi n’amuddamu nti, “Ekyo bwe kiri, ssebo, naye era n’embwa ezibeera wansi mu mmeeza, ziweebwa ku bukunkumuka obuva ku ssowaani z’abaana.”
29 Yesu n’amugamba nti, “Olw’ekigambo ekyo, weddireyo eka, kubanga dayimooni avudde ku muwala wo.”
30 Omukazi bwe yaddayo eka yasanga muwala we agalamidde awo ku kitanda, nga muteefu era nga dayimooni amuvuddeko.
31 Yesu bwe yava mu Ttuulo n’agenda e Sidoni, eyo gye yava n’addayo ku nnyanja ey’e Ggaliraaya ng’ayitira mu “Bibuga Ekkumi” (Dekapoli). 32 Awo ne bamuleetera omusajja omuggavu w’amatu ate nga tayogera, abantu bonna ne beegayirira Yesu amusseeko emikono gye amuwonye.
33 Yesu n’aggya omusajja mu bantu n’amulaza wabbali, n’assa engalo ze mu matu g’omusajja; n’awanda amalusu, n’agasiiga n’olunwe lwe ku lulimi lw’omusajja. 34 Awo Yesu n’atunula waggulu n’assa ekikkowe, n’alyoka alagira omusajja nti, “Efasa!” ekitegeeza nti, “Gguka.” 35 Amangwago amatu g’omusajja ne gagguka n’awulira buli kintu era n’ayogera bulungi!
36 Yesu n’akuutira ekibiina baleme kutegeezaako balala ku bigambo ebyo okubisaasaanya, naye bo ne beeyongera okutegeeza. 37 Kye yakola kyali kibayitiriddeko. Ne boogera nga batenda Yesu nti, “Buli ky’akola kya kyewuunyo, aggula n’amatu ga bakiggala n’ayogeza ne bakasiru!”
*7:11 Korubaani kitegeeza ekintu ekyawuddwako okuweebwa Katonda. Korubaani kyakozesebwanga mu mateeka ga Musa okukubiriza abaana okufaayo ku bazadde baabwe, ate n’abayigiriza b’amateeka baakozesanga ekirayiro kya Korubaani okufuga abagoberezi baabwe